Okutegeka – Enteekateeka Y'ekibiina

Ennyimba

Ekibiina kyo kitandike n'ennyimba empya era buli omu asitukire mu mazina. Funa ennyimba okuva ku mukutu gwaffe era muyige amazina agali mu butambi.

Katemba

Ku lwa katemba anyuma buli ssabbiiti, funayo bannakatemba babiri b'onokozesanga buli ssabbiiti: Willie Omugezi ne Fred Omusiru. (Osobola okukyusa amannya gabwe bw'oba oyagadde.) Tunulamu mu ssomo era ogaziye ebirowoozo bya katemba okutambulira ku ssomo n'okubikkula amaaso g'abaana basobole okusika ekifaananyi ky'olugero lwa Baibuli. Okukozesa abazannyi bebamu buli ssabbiiti kijja kusembeza ekifaananyi kya katemba kumpi n'ekyo eky'obulamu obwa ddala era kinyumise omwaka nga abaana beyongera okumanya Willie Omugezi ne Fred Omusiru. Bakolere ebyambalo ebyangu okuleka ku kkanisa n'okwambala. (Gamba nga enkofiira ne ggalubindi.)

Essomo Ekkulu

Bw'omala okwanjula essomo, genda ku lugero lwa Baibuli. Kakansa nti ogenda mu Baibuli okufuna olugero mubujjuvu kuba lwonna teluli mu katabo kano. Bwe mumala okuyiga olugero, kakasa nti mukwata ku ssomo ekkulu n'enkozesa yalyo mu bulamu. Kunkomerero y'essomo, musome olunyiriri lw'okujjukira era musabire wamu.

Ebitabo By'abayizi

Saasaanya ebitabo by'abayizi oba empapula eziriko essomo. Yamba abayizi abakalubiriddwa obukunizo kuba ebitabo bya ssande sikuuru tebirina kuba bizibu wabula kunyuma. Abaana basobola okusiba ne ggaamu ebintu bye bagala ku mpapula zabwe. Ku bayizi abato ebintu nga omuceere, pamba ne langi bisobola okuwunda empapula zabwe ez'okusiiga. Ku bayizi abakulu ebitabo byabwe bisobola okukola nga dayare mwebawandiika ebirowoozo byabwe era basobola bbo okukwasizaako tiketi, ebinusu n'ebintu ebilala ebibajjukiza okukola obulimu obubaweereddwa.

Obulimu Bw'okutwala Awaka

Tetugenda ku fuuka bawanguzi olw'okugenda ku kkanisa oba okukwata Baibuli wabula tulina okussa bye tusoma mu nkola. Sikiriza abayizi bo OKUTAMBULIRA ku Baibuli nga weyambisa obulimu bw'okutwala awaka buno.

Laba ebisingawo ku lupapula olutuumiddwa "Mu Lingi".

Akazannyo k'olunyiriri lw'okujjukira

Obuzannyo obuli mu nteekateeka eno bwa kuyiga olunyiriri lw'okujjukira olwa buli ssabbiiti. Kozesa obuzannyo obukuwereddwa oba leka abayizi bo balonde obwo obubanyumira okuzannya. Tegeka buli ekyetaagisa mu kuzannya buli kazannyo konna.

Ebibuuzo N'ennyanukula (by'abayizi abakulu)

Mu limu ebibuuzo bisatu mu buli ssomo okusobola okutakula obwongo bw'abayizi bo. Ebibuuzo bino by'abavubuka (myaka 13-15) naye osobola okubigezesa ne ku bato okulaba oba bina leetawo okwogerezeganya. Ekikulu kya kuleetera bayizi bo okulowooza. Kino okukola tolina kubawa nnyanukula ya bibuuzo mangu. Buli bwe bamala akadde nga balwana ku nsonga, baba balowooza era ggwe nga omusomesa oba okola bulungi. Bwe balemera ku nsoga nebagikubaganyaako ebirowoozo, ggwe oba okola! Singa abayizi bonna badda ku luuyi lumu olw'ensonga, yingizawo oluuyi olw'okubiri basobole okulowooza n'okwogerezeganya.

Kaadi Z'emizannyo

Gaba ekirabo ky'okujjumbira nga eno ye kaadi eriko olulwana lwa ssabbiiti eyo. Abayizi bo baagazise okujja nga mu ssande sikuuru okumala omwaka mulamba era okung'aanye kaadi zabwe ku nkomerero yagwo. Kaadi zino osobola okuzifuna ku mukutu gwaffe era nebazikukubira ku kasente akatono.Kaadi zino osobola n'okuzikozesa okuzannya akazannyo k'okujjukira nga bw'otabaganya obulimu obukwatagana n'ekyonoono.