Emikolo Gy'obuwanguzi
Ekimu ku bintu ebikulu mu kubeera omutendesi kwe kusobozesa abayizi bo okuwulira ng'abawanguzi. Kino kitegeeza nti olina okulambika enneeyisa gy'onoonya era ogabe ebirabo eri abagitambulirako. Tusaba abayizi obawe empeera olw'okukola obulimu obw'awaka, bwe bateeka mu nkola essomo lya ssabbiiti. Okujjumbira n'okukwata emisomo kuba kutendekebwa ate okukola obulimu mu ssabbiiti kuba kuvuganya. Abayizi bo bakakase nti okutendekebwa kikulu bwe baba baagala okuwangula. Naye, mu kuvuganya mu nsi eya ddala mwe muli okuwangula okutuufu.
Ekimu ku birowoozo kwe kutegeka omukolo gw'obuwanguzi buli mwezi ku nkomerero ya buli kibala ky'Omwoyo. Okugeza, OKWAGALA kulina ssabbiiti 5 ez'okusoma. Abo ababa bakoze obulimu bwa ssabbiiti wakiri 3 bawangula emidaali gya bronze, ffeeza aba ssabiiti 4 ne zaabu aba ssabbiiti 5. Osobola okukyusakyusa mu ngeri abaana gye bawangula emidaali oluvannyuma lw'omwezi ogusooka kuba ebyaalo ebimu biyinza okwetaaga obulimu obukaluba okusingako. Ebifo ebimu bijja kuba nga byetaaga obulimu obwangu obutabamalaamu maanyi era okusigala nga bakyajja mu kibiina kyo.
Ku nkomerero y'omwaka funayo ebirabo ebinene eby'abo abazze bawangula ebirabo ng'omwaka gutambula. Eno esobola okuba engule oba omudaali omulungi okusinga egya bulijjo. Ebirabo okubifuula eby'amakulu, bigabire mu maaso g'abantu abakulu mu kkanisa!