Abaana Kikulu Ebitukwatako Tuwuliziganye Ssande Sikuuru Enteekateeka za VBS myCMU: Training
Tulina ekyewuunyisa gy'oli. Oyinza okuba nga weewandiisa kubeera musomesa wa Ssande Sikuuru, naye omulimu gwo kati oli MUTENDESI! Guno omwaka tugenda kusoma Baibuli nga tutambulira ku muzannyo gw'ebikonde era tusuubira okunyumirwa eby'emizannyo. Omusomesa omwagalwa, tandikirewo kaakati! Beera omutendesi so si musomesa kisobole okukuwa amaanyi okufaayo ennyo eri buli muyizi ali mu kibiina kyo n'enkola ye nga bw'alwana okufuuka omuwanguzi.
Kola obubinja bw'abaana 3-7. Buli kabinja ketaaga omutendesi. Abatendesi tebetaaga kujja mu kibiina buli ssabbiiti naye balina okukebera ku bayizi oba "abazannyi" baabwe buli ssabbiiti. Funayo omu ku bakulembeze omufuule omutendesi omukulu era akole omulimu ogw'okukunga abatendesi abalala.
Ekibiina kyo kyawulemu obubinja obutono abayizi bo basobole okukola obulimu bwa buli ssabbiiti. Enteekateeka za ssande sikuuru ezisinga zibeera ku kkanisa era tezetaagisa bulimu bwa kutwala waka. Naye abayizi bo tebasobola "kukuba eri" byonoono nga bayita mu kusoma kwokka. Balina okuyingira "Mu Lingi" ne balwanyisa ebibi bye basanga mu ssabbiiti. Mazima bwe wataba abalondoola, kino kiba tekijja kusoboka. Tomala gakkiriza bwe bakugamba nti obulimu baabukoze. Bw'olagajjala eri enteekateeka eno, ojja kuba otendeka bayizi bo kukulimba. Naye, tebeerezaamu nange singa mubutuufu otendeka abayizi bo era n'okakasa nti bakola obulimu bw'obawadde, ojja kulaba enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Mu mwaka gumu gwokka, ojja kukyusa obulamu bwabwe. Abayizi bo bajja kuba nga tebakwatabukwasi ekibala ky'Omwoyo wabula bajja kuba nga BAKITAMBULIRAKO!
Okutambuza obubinja buno, tukoze obutabo bw'abatendesi n'akatabo k'omutendesi omukulu. Obutabo bw'abatendesi buli kamu ka mwezi gumu n'ekibala kimu eky'Omwoyo. Omutendesi omukulu ye akataboke kalimu obulimu obw'ekitundu kiramba eky'emyezi 3.
Bya kutereka ku kompyuta.
Amawulire gonna aga kwata ku Kitundu 1 gali mukifo kimu. Akatabo kano kawe "Omutendesi Omukulu". - Ekitundu 1
Kiyinza okuwulikika nga ekikalubo okuwandiika abakulembeze osobole okuba n'abatendesi abamala obubinja bwo. Naye, kino tekyetaaga kuba kizibu. Zino z'ezimu ku ngeri ez'okugonzaamu okufuna abatendesi:
Bya kutereka ku kompyuta.
Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 1: Okwagala, Essanyu, Emirembe
Omulimu gw'omutendesi omukulu gwa kukuuma abatendesi nga bacamufu. Engeri enkulu ey'okukola kino kwe kutegeka olukiiko buli mwezi. Musobola okulya emmere, ne musabira wamu era ne mutunula ne ku mawulire agakwata ku by'emizannyo okulaba bwegayinza okutuyamba mu bulamu bw'ekikulistaayo. Musobola n'okutunulira omuddusi wa Olympics oba ne mulaba firimu ekwata ku by'emizzanyo nga bwe mulya ku mberenge oba eby'okulya ebilala. Yogeramu n'abatendesi bo ku nsonga eno: nti bwe kiba nga kigwana nnyo abazannyi okukola ennyo, lwaki naffe tetukolerera nnyo eby'omwoyo n'okuganyulwa okw'emirembe n'emirembe?
Bya kutereka ku kompyuta.
Amawulire gonna aga kwata ku Kitundu 2 gali mukifo kimu. Akatabo kano kawe "Omutendesi Omukulu". - Ekitundu 2
Bya kutereka ku kompyuta.
Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 2: Obuguminkiriza, ekisa, obulungi.
Bya kutereka ku kompyuta.
Amawulire gonna aga kwata ku Kitundu 3 gali mukifo kimu. Akatabo kano kawe "Omutendesi Omukulu". - Ekitundu 3
Bya kutereka ku kompyuta.
Buno buwe abatendesi bonna; kamu ka buli mwezi. Ekitundu 3: okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.