Ebikozesebwa
Endagiriro ya Dayirekita
Sanga byonna ebifa ku VBS ya "Olugendo olutaliiko Kkomo" mu katabo kano! – Enteekateeka, bannakyewa, emisomo nga kw'otadde n'ebirowoozo eby'enjawulo.
- Tereka Endagiriro ya VBS Y'olugendo
-
Akatabo Akagya mu Nsawo
Akatabo kano kawe buli mukulembeze ne bannakyewa mu VBS yo. Kalimu amawulire mu bimpimpi agakwata ku buli ssomo n'ennyanukula y'obukunizo.
Ettu Ly'obuminsani e India
Camula abaana bo betegekere eng'endo z'obuminsani! Mulimu ebipande 6, empapula z'abayizi ez'okulabirako n'akasanduuko k'okusonda obuyambi.
Ekipande Ekiyita
Ekipande kino kitimbe mu kitundu kyo okusikiriza abaana okujja ku mukolo gwo.
Obupapula Obuyita
Buulira abaana ebifa ku Yesu nga obayita okujja ku mukolo gwo ng'okozesa obupapula buno.
Ennyimba
Camula VBS yo ng'okozesa ezimu ku nnyimba n'amazina gaffe aga VBS! Ennyimba zisange ku mukutu gwa yintaneti era obutambi busange ku Youtube. (Zikyali mu Luzungu ne Spanish)
Ekifaananyi Ky'okusiteegi (emabega)
Timba ekifaananyi kino emabega wa siteegi ocamule abaana obwongo. Funa wano PDF oba saba bakikukubire ku katundubaale oba ekipande ekinene. Kozesa ebipimo: 4x2m oba 3X1.5m
Eby'emikono
Abaana BAAGALA nnyo eby'emikono! Funa wano engeri z'ebyemikono, otegeke ebyetaagisa era mutandikirewo n'abaana ba VBS yo okubikola!
- Tereka Olugendo VBS Eby'emikono
-
- No words
- English
- Español / Spanish
- Filipino
- Français / French
- हिंदी / Hindi
- Bahasa Indo / Indonesian
- ಕನ್ನಡ / Kannada
- Luganda
- മലയാളം / Malayalam
- Português
- Русский / Russian
- Swahili
- தமிழ் / Tamil
Okutimba
Fuula ekkanisa yo ensi ey'ebyewuunyo mu biseera by'obunnyogovu.
Osobola!
Yadde mubeera mu ggwanga elitafuna muzira, musobola okwefuula nti kaseera ka bunnyogovu. Abaana bajja kwagala nnyo okuyingira mu nsi edela!
Obutundutundu Bw'omuzira obwa Vinyl
Sitiika z'obutundutundu bw'omuzira obw'okussa ku madinisa g'ekkanisa! Funa wano engeri yabwo osabe babukukubire mu kitundu kyo oba bwekubire ku lupapula oluliko ggaamu emabega omale obusalemu.
Eby'okutimba Ebitonnya
Kola eby'okutimba ebizingulukuka nebiba ng'ebitonnya obitimbe ku siteegi ye kkanisa! Kozesa empapula eza bulijjo oba tunula ku ngeri yaffe okole ebinene ddala!
- Tereka Olugendo VBS Eby'emikono