Awaka Abawanguzi

Abasomesa baffe abaagalwa,
Tusaba Katonda abawe omukisa nga mumuweereza n'okutuusa obusumba eri abaana okwetoloola ensi. Mukola eky'enjawulo era mukyusa obulamu emirembe n'emirembe!

Tulina ekyewuunyisa gy'oli. Oyinza okuba nga weewandiisa kubeera musomesa wa Ssande Sikuuru, naye omulimu gwo kati oli MUTENDESI! Gano mazima kuba guno omwaka tugenda kusoma Baibuli nga tutambulira ku muzannyo gw'ebikonde era tusuubira okunyumirwa eby'emizannyo. Omusomesa omwagalwa, tandikirawo kati! Beera omutendesi so si musomesa kisobole okukuwa amaanyi okufaayo ennyo eri buli muyizi ali mu kibiina kyo n'enkola ye nga bw'alwana okufuuka omuwanguzi.

Tujja kuba nga tusoma ekibala ky'Omwoyo. Wabula, si kutunuulira kibala kyokka, naye n'ebyonoono by'omubiri ebilwanyisa ekibala ky'Omwoyo. Omulimu gwo kuyamba abayizi bo okufuuka abawanguzi. Okukola kino, tebalina kukwata bukwasi nyiriri n'okuyiga engero za Baibuli, wabula balina n'okuteeka mu nkola ekibala ky'Omwoyo mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Kino kikalubo nnyo ate kummwe abatendesi.

Nga tusinziira ku muzannyo gw'ebikonde, abayizi bwe babeera mu kibiina kyo ekya Ssande Sikuuru, tuteebereze nti baba bali mu kutendekebwa. Bali mu kukajjuza n'okuyiga ebikwata ku Katonda n'okulwanyisa ekibi. Ekkanisa yo ly'ettendekero.

Abayizi bo bwe babeera wabweru mu nsi, baba bali "mu lingi"! Eno gye bajja okulwanyisiza obwagazi bw'okwonoona. Amaka gaabwe n'amasomero z'empaka n'ennwana z'ebikonde. Kino kiri bwe kityo kuba bwe tubeera ku kkanisa ffena tuba twefuula batuukirivu. Toleka mwana yenna kulowooza nti asinze omuzannyo mbu lwa kuba akwata nnyo eby'okusoma ku kkanisa. Okwo kuba kutendekebwa. Okulwana okutuufu kuli mu bulamu bwe. Asobola okuwangula emizannyo singa ateeka mu nkola emisomo gy'aba ayize mu ssabbiiti.

Omulimu ogusembayo nga omutendesi waabwe kubawa empeera n'okubazzaamu amaanyi bwe bawangula. Tegekayo ebirabo eby'okugaba. Bawe akafumito oba okubayozaayoza olwa buli "ng'uumi", oluzannya oba olulwana lwe bawangula. Enneeyisa gy'onosiima gye bajja okukulaga kuba abayizi bo bajja kuba baagala okukusanyusa ng'omutendesi waabwe.

Tusuubira nti ojja kunyumirwa okwambala nga omutendesi, okutimba ekibiina kyo nga ettendekero n'okutegeka emikolo egy'obuwanguzi. Obuwanguzi mu kuwangaalira ku kibala ky'Omwoyo bujja kujja eri omwetegefu okukola ennyo okusinga abalala nga bwe kibeera mu by'emizannyo. OSOBOLA okuyamba abayizi bo okukola n'amaanyi okufuuka abawanguzi. Bakkiririzeemu nga abalala bagaanye era ojja kulaba nga Katonda akola ebyamagero mu bulamu bwabwe!

Tusaba Katonda akuwe amaanyi nga weetikka obuvunaanyizibwa obw'okutendeka abayizi bo mu kibala ky'Omwoyo. Tukusabira osobole okumenya buli muziziko oguteekebwa ku basomesa ba Ssande Sikuuru era ofuuke omutendesi omutuufu mu bulamu bw'abayizi bo.

Ebikozesebwa

Bifune ku BWEREERE!

Jangu olabe bye tulina ku lupapula lw'ebikozesebwa era mu kaseera keekamu ofune ebitabo n'ebikozesebwa bya Ssande Sikuuru eby'okutereka ku kompyuuta ku BWEREERE!

Soma ebisingawo

Obubonero

Kebera ku bikozesebwa bino ebigenda OKUTUTUMULA Ssande Sikuuru yo!

Ssaamu amaanyi mu kufuula ekibiina kyo eky'enjawulo ng'okozesa ebisiige bino.

Soma ebisingawo

Eby'emikono

Abaana BAAGALA nnyo eby'emikono!

Eby'emikono binyumisa okusoma. Ebirowoozo bino byangu bya kukola mu ggwanga lyonna ly'olimu. Funa wano engeri z'okukolamu eby'emikono era mutandikirewo!

Soma ebisingawo